2 Thessalonians 2

Ebikolwa by’omulabe wa Kristo

1 aKaakano abooluganda, ku by’okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era n’okukuŋŋaanyizibwa okumusisinkana, tubasaba 2 bmuleme okweraliikirira wadde emitima okubeewanika newaakubadde olw’omwoyo, newaakubadde olw’ekigambo wadde olw’ebbaluwa, ebirabika ng’ebivudde gye tuli, nga biranga nti olunaku lwa Mukama lutuuse. 3 cOmuntu yenna tabalimbalimbanga mu ngeri yonna; kubanga okuggyako ng’obujeemu busoose okujja, n’omuntu oli ow’obujeemu, omwana w’okuzikirira ng’amaze okulabisibwa, 4 doyo alivvoola Katonda ne yeegulumiza okusinga ebintu byonna nga yeeyita katonda oba ekissibwamu ekitiibwa atuule mu yeekaalu ya Katonda omwo nga yeefuula okuba Katonda.

5Temujjukira ng’ebyo nabibategeeza bwe nnali nammwe? 6Era ekikyamuziyizza mukimanyi kubanga tagenda kujja okutuusa ng’ekiseera kye kituuse. 7Kubanga ekyama ky’obujeemu kyatandika dda okukola, naye ye yennyini tagenda kujja okutuusa oyo amuziyiza lw’aliva mu kkubo. 8 eOlwo omuntu ow’obujeemu alyoke alabisibwe, Mukama waffe Yesu gw’alimalawo n’omukka ogw’omu kamwa ke n’amuzikiriza n’okulabisibwa kw’okujja kwe. 9 fOmuntu oyo alijjira mu maanyi ga Setaani gonna n’akola obubonero n’eby’amagero, eby’obulimba, 10 gera n’obulimba obwa buli ngeri obw’obutali butuukirivu eri abo abazikirizibwa, kubanga bagaana okukkiriza amazima okulokolebwa. 11 hKatonda kyava abawaayo eri okubuzibwabuzibwa okw’amaanyi bakkirize eby’obulimba. 12 iEra bonna balyoke basalirwe omusango olw’okukkiriza obulimba, ne bagaana amazima ne basanyukira okukola ebitali bya butuukirivu.

13 jNaye kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, abooluganda abaagalwa mu Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye, ng’abatukuza olw’okukola kw’Omwoyo n’okukkiriza amazima, 14ge yabayitira ng’ayita mu Njiri yaffe mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo. 15 kNoolwekyo abooluganda, munywererenga ku ebyo bye twabayigiriza mu bbaluwa zaffe oba mu bigambo byaffe.

16 lKale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe eyatwagala n’atuwa essanyu n’essuubi eddungi olw’ekisa kye, 17 mabazzeemu amaanyi, era abanywezenga mu buli kye mukola ne mu buli kigambo ekirungi.

Copyright information for LugEEEE